Entertainment

Situka Tutambule – Lyrics by Bobi Wine

Bobi Wine Situka Tutambule lyrics

The artist, Bobi Wine, challenges his country men, Ugandans, to do something about corruption and injustice in their country.

He encourages everyone get up no sooner they fall – to set an example for others.

This song can be sung in situations where one feels the injustice is too much in their motherland and needs the strength to fight for freedom

Original Lyrics

Intro
When the going gets tough
The tougher must get going
Especially when leaders become misleaders
And mentors become tormentors
When freedom of expression becomes a target of suppression
Opposition becomes our position.
Boss

Verse I
Omutima gummenyese
Nayenga kyemmanyi munywaanyi naawe gukumenyese
Abantu buli w’otunula bayongobedde
Byebasuubira nga byawukana ku byebalaba
Abalala bo nebabyetamwa; banyigirizibwa Nebabulwako gyebaloopa baabuwe
Nga ne gyewandibadde oloopera
Nayo kibeerakizibu okufunayo obwenkanya

Tosigala wansi
Ensi tekusuula
Yimuka mangu(otambule)
Munsi teri kyangu
Lugendo luwanvu
Situka tugende…Mumaaso(gamba)

Chorus
Yimuka tutambule
Embeera emalamu amaanyi naye “topowa” tugende
“topowa” tutambule
Lugendo luwanvu bwetulemerako tutuuka
Yimuka tutambule
Embeera emalamu amanyinaye “topowa” tugende
Amaziga g’okaaba gakaabe nga bw’otambula

Verse II
Emyaka gibadde mingi
N’okunyigirizibwa nakwo era kubadde kungi bboyi
Essuubi libadde lingi ngatusuubira
Nti oba embeera enaakyukamu waakiri
Wabula nze kyenzudde
Enkyukakyuka gy’oyoya eri mumikono gyo mwennyini
Kubanga oyo gw’olinamu essuubi naye mumazima
Essuubi yalitadde mu ggwe ssebo
Kale gwe buli lw’onoogwa yimuka otambulirewo
Ebisooto obyeekubireko mu kkubo
Kubanga buli lw’onoogwa n’olaga nti Waggwaamu amaanyi
Eno balabira kuggwe ssebo
Obugubi bw’oyitamu bungi bwebayitamu
Naye tuberezaamu bwetutyo ne tumalako
Omuliro ogutwakiramu gukira gwetuyitamu
Gwebuli lw’onoogwa kubakusituka tutambule

Chorus
Yimuka tutambule
Embeera yo emalamu amaanyi naye“topowa”tugende
“topowa”tutambule
Lugendo luwanvu bwetulemerako tutuuka
Yimuka tutambule
Embeera yo emalamu amanyi naye“topowa”tugende
Amaziga g’okaaba gakaabe nga bw’otambula

Verse III
Kati nzijukiza ggweeyeebase
Nabuli eyeekubagiza
Muganda wange nkugamba situkirawo
Tulina omulimo omunene gwakuzimba Uganda eryeesimisa abo abaliddawo

Bw’oba tosobola kudduka wakiri ng’otambula.
Bw’oba tosobola kutambula wakiri ng’oyavula
Bw’oba tosobola kwavula wakiri nga wewalula
Naye kyonna kyekiri sigala “ng’omuvinga”
Tewali mirembe gyebagenda kuleetera waka ku “soosi” yo
Oba toli mumativu osaana okangule ku “voice” yo
Sigala ku“course”yo naye manya “rights” zo
Tolema kukolera Uganda ggwe zimba ggwanga lyo
Wadde nga “boss” wo teyali wa “choice” yo
Gwe zanya “part” yo kuba lino ggwanga lyo

Chorus
Yimuka tutambule
Embeera yo emalamu amaanyi naye“topowa”tugende
“topowa”tutambule
Lugendo luwanvu bwetulemerako tutuuka
Yimuka tutambule
Embeera yo emalamu amanyinaye“topowa”tugende
Amaziga g’okaaba gakaabe nga bw’otambula

 

Click to comment

Dear our estimated reader, what is your take about this topic?

Most Popular

To Top